Numbers 26:57-62

Okubala Abaleevi

57 aBano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:
abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;
abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;
abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
58 bNe zino nazo nnyiriri za Baleevi:
olunyiriri lw’Ababalibuni,
olunyiriri lw’Abakebbulooni,
olunyiriri lw’Abamakuli,
olunyiriri lw’Abamusi,
n’olunyiriri lw’Abakoola.
Kokasi yazaala Amulaamu.
59 cErinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 60 dAlooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 61 eKyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.

62 fAbasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
Copyright information for LugEEEE